Λόγωτης πανδημίαςτουιού COVID-19 και τηςδιακοπήςτηςδιεθνούς υπηρεσίας αλληλογραφίας,
έχουμε αναστείλει προσωρινάτην υπηρεσία μας "ΔωρεάνΤυπωμέναΒιβλία (Free Print Book)".
Τα έντυπα βιβλία είναι διαθέσιμα για ατομική αγορά στο Amazon. (Τα eBooks Kindle είναι επίσης διαθέσιμα για λήψη)
Ekitabo kino kirina originality ku mulamwa guno. Mu bigambo ebirala, ekitabo kino kitulaga bulungi okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri kye kitegeeza era n'engeri y'okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri mu mazzi ne mu Mwoyo ng'ekiragiro kya Baibuli bwe kiri.
Amazzi galaga okubatizibwa kwa Yesu ku Yoludaani era Baibuli egamba nti ebibi byaffe byonna byaweebwa Yesu bwe yabatizibwa Yokaana Omubatiza. Yokaana yali mubaka w'abantu bonna era muzzukulu wa Alooni, Kabona Asinga Obukulu. Alooni ku Lunaku lw'Okutangirira yateeka emikono gye ku mutwe gw'omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo n'agiwa ebibi byonna eby'omwaka by'Abayisirayiri. Kino kisiikirize ky'ebintu ebirungi ebigenda okujja.
Okubatizibwa kwa Yesu kwe kuteeka emikono okw'amazima. Yesu yabatizibwa mu ngeri y'okuteeka emikono ku Yoludaani. Kale yatwala ebibi byonna eby'ensi ng'ayita mu kubatizibwa kwe era n'akomererwa okusasula ebibi ebyo.
Naye Abakristaayo abasinga tebamanya lwaki Yesu yabatizibwa Yokaana Omubatiza mu Yoludaani. Okubatizibwa kwa Yesu kye kigambo ekikulu eky'ekitabo kino era kitundu ekitayinza kuggibwawo mu Njiri ey'Amazzi n'Omwoyo. Tuyinza okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri nga twesiga okubatizibwa kwa Yesu n'Omusaalaba gwe gwokka.