Search

LIBROS IMPRESOS,
ELECTRÓNICOS Y EN AUDIO GRATIS

El Evangelio del agua y el Espíritu

DDALA OZAALIDDWA OMULUNDI OGW’OKUBIRI MU MAZZI NE MU MWOYO OMUTUKUVU? [Ekitabo Ekipya Ekirongooseddwa]
  • ISBN9788928261864
  • Páginas382

Lugando 1

DDALA OZAALIDDWA OMULUNDI OGW’OKUBIRI MU MAZZI NE MU MWOYO OMUTUKUVU? [Ekitabo Ekipya Ekirongooseddwa]

Rev. Paul C. Jong

EBIRIMU
 
Ekitundu Ekisooka—Okubuulira
1. Tulina Okusooka Okumanya ebikwata ku Bibi byaffe okununulibwa (Makko 7:8-9, 20-23) — 19
2. Abantu Bazaalibwa Aboonoonyi (Makko 7:20-23) — 37
3. Bwe tukola ebintu okusinziira ku Mateeka, kiyinza okutulokola? (Lukka 10:25-30) — 51
4. Obununuzi Obutaggwaawo (Yokaana 8:1-12) — 75
5. Okubatizibwa kwa Yesu N’Okutangirira Ebibi (Matayo 3:13-17) — 109
6. Yesu Kristo Yajja mu Mazzi, Musaayi, ne Omwoyo Omutukuvu (1 Yokaana 5:1-12) — 161
7. Okubatizibwa kwa Yesu Kye Kifaananyi ky’Obulokozi eri Aboonoonyi (1 Peetero 3:20-22) — 197
8. Enjiri y’okutangirira Okungi (Yokaana 13:1-17) — 217
 
Ekitundu Ekyokubiri—Omwongera
1. Obujulizi bw’Obulokozi — 287
2. Ennyinyonnyola ey’okugattako — 309
3. Ebibuuzo n’Okuddamu — 345
 

Omutwe gw`ekitabo kino omukulu guli ku "kuzaalibwa omulundi ogw`okubiri mu Mazzi ne mu Mwoyo." Ekitabo kino kirina originality ku mulamwa guno. Mu bigambo ebirala, ekitabo kino kitulaga bulungi okuzaalibwa omulundi ogw`okubiri kye kitegeeza era n`engeri y`okuzaalibwa omulundi ogw`okubiri mu mazzi ne mu Mwoyo ng`ekiragiro kya Baibuli bwe kiri. Amazzi galaga okubatizibwa kwa Yesu ku Yoludaani era Baibuli egamba nti ebibi byaffe byonna byaweebwa Yesu bwe yabatizibwa Yokaana Omubatiza. Yokaana yali mubaka w`abantu bonna era muzzukulu wa Alooni, Kabona Asinga Obukulu. Alooni ku Lunaku lw`Okutangirira yateeka emikono gye ku mutwe gw`omwana gw`endiga ogw`ekiweebwayo n`agiwa ebibi byonna eby`omwaka by`Abayisirayiri. Kino kisiikirize ky`ebintu ebirungi ebigenda okujja. Okubatizibwa kwa Yesu kwe kuteeka emikono okw`amazima. Yesu yabatizibwa mu ngeri y`okuteeka emikono ku Yoludaani. Kale yatwala ebibi byonna eby`ensi ng`ayita mu kubatizibwa kwe era n`akomererwa okusasula ebibi ebyo. Naye Abakristaayo abasinga tebamanya lwaki Yesu yabatizibwa Yokaana Omubatiza mu Yoludaani. Okubatizibwa kwa Yesu kye kigambo ekikulu eky`ekitabo kino era kitundu ekitayinza kuggibwawo mu Njiri ey`Amazzi n`Omwoyo. Tuyinza okuzaalibwa omulundi ogw`okubiri nga twesiga okubatizibwa kwa Yesu n`Omusaalaba gwe gwokka.
Bajar Libro Electronico
PDF EPUB
Libro Impreso Gratis
Agregar libros al Carrito

Libros relacionados con este título

The New Life Mission

Participe en nuestra encuesta

¿Cómo se enteró de nosotros?