Search

免费印刷书籍、
电子书和有声读物

水与灵的福音

TUDDEYO KU NJIRI EY’ AMAZZI N’ OMWOYO
  • ISBN8983140909
  • 页码310

卢甘达语 2

TUDDEYO KU NJIRI EY’ AMAZZI N’ OMWOYO

Rev. Paul C. Jong

Ebirimu

Enyanjula
1. Amakulu agali mu njiri ey’olubereberye ey’okulokoka (Yokaana 3:1-6) 
2. Enzikkiriza enkyamu mu bukristaayo (Isaaya 28:13-14) 
3. Okukomolebwa okw’Omwoyo era okw’Amazima (Okuva 12:43-49) 
4. Okwatula okw’ebibi okutuufu (1 Yokaana 1:9) 
5. Obukyamu obuli mu ndowooza n’ensomesa y’Okwawulibwa okw’obwakatonda (Abaruumi 8:28-30) 
6. Obuweereza bw’obwakabona obuggya (Hebrews 7:1-28) 
7. Okubatiza kwa Yesu: Ennono eyenkalakkalira gye twetaaga tulyoke tununulibwe (Matayo 3:13-17) 
8. Tukole era tutuukirize okwagala kwa Katonda n’Okukkiriza (Matayo 7:21-23) 
 
Nkakasiza ddala nti omuwendo gw”Ekitabo kyonna ekiwandiikibwa guli mu kumanya nti obubaka obuwandiikiddwamu tebuyinza kusangibwa mu kitabo kirala kyonna ekiwandiike. Ebitabo byaffe tebikubibwangako mu kifo kyonna; bippya ddala – ng’era n’Omulamwa oguwandiikiddwamu bwe guil. By’ebitabo ebisookedde ddala okwandiikibwa mu mulembe gwaffe nga bitulaga ekyama ekikusike eky’Okubatiza kwa Yesu (nga bwe yabatizibwa Yokaana omubatiza). Tusaanye tumanye nti Ekkanisa eyasooka teyakuzanga mazaalibwa ga Mukama waffe. Wayitawo emyaka bibbiri, olwo Ekkanisa nelyoka etandika okukuzza amazaalibwa. Olwo ekkanisa eyasooka awamu n’Abayigirizwa ba Yesu bali bakuza olunaku lwa Januwaali 6. Luno lwe lunaku Yesu Kristo lwe yabatizibwa mu mugga Yoludaani; Yokaana omubatiza ye yamubatiza.
Owoluganda njagala nkubuuze; olowooza lwaki ab’Ekkanisa eyasooka essira(mu nzikkiriza yabwe) baliteeka nnyo ku kubatiza kwa Yesu? Ebitabo byaffe bituwa ekyokuddamu eri ekibuuzo kino. Era Ekyokuddamu kino kye kyama ekikusike abayigirizwa n’Abakristaayo ab’edda kyebazuula. Omulamwa omukulu era ogw’enkalakkalira mu bitabo bino ebiwandiikibwa bikwata ku kyama emabega w’Okubatiza kwa Yesu n’Enjiri y’Amazzi n’Omwoyo (Yokaana 3:5). Ensonga eno ya muwendo mungi nnyo gye tuli ffe abakkiriza fenna.
Kino ekitabo kijja kuyamba omukristaayookuwulira n’okumanya amazima g’Enjiri y’Amazzi n’Omwoyo. Obubaka mu kitabo kino bunaluŋŋamya abasomi ba Baibuli abanoonya amazima.
电子书下载
PDF EPUB

与该标题相关的书籍